Songtexte.com Drucklogo

Maama Songtext
von Nshuti Mbabazi

Maama Songtext

Mu ka wooteeri k′awo e Ntinda
We nanywanga ka chai kange
Akachai kange
Nga buli lwentuuka naawe ng'osonga
Ebintu ebyo nno byantamanga
Okwo okunondoola
Nze n′olusaasasa olwo lwanyiizanga
Ng'ombuuza bwe wegonzaagonza
Nze kale tebyankubanga
Amaaso walinga oganyoola
Nga wenna bwe wemoolamoola
Kumbe eno binsumulula, ha!
Nga mu kusasula waiter aŋamba
Nti munno oli amaze okusasula
Era ne change y'oyo, wuuyo
Obuntu obwo nali mbunyooma
Obujja nga bwegattagatta
Bwe busumulula omuntu
Era ne busumulula embeera


Kale anaawangula omutima
Alemerako
Alemerako nnyabo alemerako
Ne bw′omukuba ekimmooni
Alemerako, eeh
Alemerako munnange alemerako
Akanya kubeera mugonvu
Alemerako nnyabo alemerako
Ne bw′omuvuma tanyiiga
Alemerako munnange alemerako
Anaayingira enju yo
Alemerako nnyabo alemerako
Akonkona ne wefuula atawulira
Alemerako munnange alemerako
Akanya kukola buntu bwe
Alemerako nnyabo alemerako
Ekivaamu n'osumulula
Alemerako munnange alemerako

Kati laba tuutuno tukaga
Ne lwe ssikulabyeko siwera
Ate oba siyala
Gwe mwami wange
Laba kati ate nz′agoberera
Nkunoonya ng'ebiwoomerera
Olimu ebiwoomerera
Omubissi gwange
Olumu nkyamuka ne mba ng′ali ku machine
Lwakuba gwe tompulira
Ninga akatadooba akaweddemu paraffin
Nga kanaatera ozikira
Obuntu obwo nali mbunyooma
Obujja nga bwegattagatta
Bwe busumulula omuntu
Era ne busumulula embeera

Songtext kommentieren

Log dich ein um einen Eintrag zu schreiben.
Schreibe den ersten Kommentar!

Fans

»Maama« gefällt bisher niemandem.