Songtexte.com Drucklogo

Uganda Empya Songtext
von Troy Mc

Uganda Empya Songtext

Wake Up, Uganda Empyaaaaa
Forget the old story, Uganda empyaaa
Its our turn now
Raise your hands if you ready for a new Uganda
Troy
Tushi

Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu Uganda Empya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu park Empya
Motoka zibaawa tulumba newetuba tulumba nkya
Uganda enkadde njikooye njagala Uganda Mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya, njagala Uganda mpya

Nfunamu okutya nga wendowoza
Bizibu bingi mu bantu bwavu bungi nyo mu bantu
Ennaku jenina yetaaga okwoza
Nsobole okufuna ku majja ago mu bungi
Naye zenkola zebasoloza
Omutima gwenina mutono naye ebiguluma bingi
Ngezako okukola mpambane njiribe mberewo
Naye eno jempitira bantega ebijinji
Naye nga lwaki oba nabaaki
Uganda weeli kati empisaamu obuswaki
Ntambudde nziruse nga noonya kifo gyenekweeka
Bebuuza ayingidde kaswa ki
Baana bangi kumakubo eyo tebasoma
Okulonda ekiddo kabeera kasima
Uganda entuufu teyandibadde weti
Kyoka musasuza abasomera mu government
Bali ku bali nange nemedde ku mbali
Evo Subaru nange nemedde ku rally
Yona jelaga oba tugenda Kigali
Uganda entamye sikulimba my chali
Njagala okulaba kubintu ebibya
Omukulembeze aveeko tufune omupya
Njagala okufuna kumusaala omungi
Fees bafune basigazewo ezokulya
Degree bajisome bamaleko naye nga nemirimu jebagenda okola wejiri
Baana bakuuta ekitabo mu Uganda nazukuka nalumibwa nensiri
Baana banooya omulimu gwasomedde omwezi bamusasula kyabiri
Omuyindi lyekubo lyebakozesa bazikubise, obulamu babukyuuse

Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu Uganda Empya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu park Empya
Motoka zibaawa tulumba newetuba tulumba nkya
Uganda enkadde njikooye njagala Uganda Mpya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu Uganda Empya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu park Empya
Motoka zibaawa tulumba newetuba tulumba nkya
Uganda enkadde njikooye njagala Uganda Mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya, njagala Uganda mpya

Wekyijja kunsi yange, mbulwa new′ okutandikira
Kino ki Uganda kyolaba kilimu egumba namasavu gaako
Wobo' kiwadde obudde obumala
Kuba olaba nze mwana kankugambe
Oyo mama waffe nalubaale
Ye zadde lyabuli kitonde kyona kyona kyona
Kyona kyomanyi kunsi oba duniya ekitufaanana
Mama kintu bintu bantu muntu untu guntu
Yali mulungi nyo bili ebibalagala
Nga atemagana bona nebakubagana
Ebilungo ebinjji wamu na malagala munjjagaza
Kati lengeela obulunjji bwe webusikiriza abajjambula
Abbasazzi bekigambo nabakumpanya
Nabo nebatutondera eki theory kye bayitta, imagined realities
Sikamanyi bulunji mu luganda muna nsonyiwa
Naye nga kyembagamba kiva muluno olulyo
Akateggedde kubila yesu mungalo
Asiimye gamba bweeza,tegeeza muno bwootyo
Okatambuze amawanga kubanga mwattu owoluganda
Silimba nkubulila bino bino wamanga
Nti muluno olugambo mwe mwava omuminsaani
Omusubuuzi wo′ muddu, no' owekigambo mugatte okwo ojjukire nti
Akusooka ya' kusembya
Laba laba lubaale gwe tuseembya, laba laba lubaale wakaawa
Awo naye obuchaayi ne bulanda, Olwo Mama kintu bamuyita kaawa
Mama kintu kati ayitibwa Uganda
Uganda owoluganda uganda empya uganda enkadde
Uganda buvunanyizibwa bwaffe okwejjukiza omujjukiza nti ffe
Ffe zadde ffe munyo ffe banunuzi baffe ffe lunyiriri lwa ffe
Tulimu ekibi kyookulinda omununuzi
Amaaso gaabasiinga galemelelewa lubeerera okuzibuka
Galemelelwa lubeerera okuzibulwa

Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu Uganda Empya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu park Empya
Motoka zibaawa tulumba newetuba tulumba nkya
Uganda enkadde njikooye njagala Uganda Mpya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu Uganda Empya
Njagala wabeleyo omuntu andaga eligenda mu park Empya
Motoka zibaawa tulumba newetuba tulumba nkya
Uganda enkadde njikooye njagala Uganda Mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya ngambye njagala Uganda mpya
Njagala Uganda mpya, njagala Uganda mpya

Uganda enkadde egaanye
Tatatatatatatatitititi

Songtext kommentieren

Log dich ein um einen Eintrag zu schreiben.
Schreibe den ersten Kommentar!

Fans

»Uganda Empya« gefällt bisher niemandem.